Tokola Lubaale Bamweyana nga Dungu akyabanja. Omuganda alya ku muyigo. Mu luggya osobola okulima n'okulunda eddagala, naye emmere y'Omuganda ya kuteega buteezi. Keera ku makya oyingire eddungu. Yigira ku baganda bo ne bakitaabo okuwanga akatego.
Tetulina kigambo "copy" mu Luganda, kuba omuyizi ayongerako ebibye ku by'ayasoma ng'awanga akatego ke. Okuwanga akatego akanaakusobozesa okutwala enyama ewaka buli kiro, ekyo Kabaka wo Dungu ky'akubanja. Era ekyo bw'oba nga tonnakikola, okusamira Bamweyana ojja kugwa bugwi ddalu.
Oba mu njogera yaffe ey'e Kampala: Just genda okole, blood.
Ne bw'onoonnywa waragi, oba n'ofuna ebikazi, oba n'okuba amasadda, oba n'ovuga mmotoka za mpaka, oba n'okuba omupiira, oba n'obba ssente z'omuwi w'omusolo, oba n'okyunnya banno, oba n'oyingira struggle, oba n'osiiba mu kkanisa, oba n'ogenda mu ssabo—bw'oba tokoledde sanyu lyo, ogenda kusala waya.
Any form of pleasure you indulge in that you've not earned is only going to cost you your mental health. It is just a law of nature.
