Emikolo. Oba mwe kye muyita okusamira. Giriwo kukuyigiriza. Egyo emikolo si gya kusabiriza. Oba kwetikka bitibwa. Abagwanjuba n'abavanjuba bajjukira ebintu bya bajjajjawe mu kuwandiika. Bajjajjamwe emikolo gye bakolanga mu kifo ky'okuwandiika. Egyo emikolo si gya kusabiriza Kabaka wammwe Mukasa. Emikolo gya kumujjukira.
Essanyu n'emandwa emikolo gye gikuwa si kirabo kya kusabiriza, ogwo gwe musomo. Bamweyana ky'ava abasula eddalu. Oba Kawumpuli n'abanakuwaza. Mwatamiira ebireeta emandwa. Temukyabyawula ku mandwa yennyini. Egyo emizimu gyonna munaagisobola? Oba si mpewo, nga kawaragi ke kakusibye mu ssabo? Oba bitiibwa. Oba bunafu. Oba mululu. Oba bubba. Oba busungu. Lubaale gw'okaka okukuyamba akolera ku biragiro byo?
Muyize obubuze bw'abazungu. Emikolo mwagala kugifuula mize. Mugaanye okuva mu ssabo. Simanyi ne Lubaale mwagala kumusiba n'ejjembe ly'abazungu ery'obwannannyini? Mulaba bwe mugenda okuva mu kusamira mutandike okweroga. Tubeere nga tetusobola kubawula ku tiktoker oli gwe bavumye nti ddiikula.
Bannange muve mu masabo tugende tukole. Omuganda ensi ye yagyezimbera tebeera na baddu. Ago amayembe ge muwanga gabakolere obuddu munaagaliisa ki okuggyako abaana n'abazzukulu bammwe?
Bannange ne jjajja akoowa.
Oluusi temumunenya kubalimba nemumufula Kabaka
Nga mulowooza lw'anaabakolera.
Jjajja Bamweyana si Lubaale
Gw'atannakora Ddungu, Bamweyana agenda kusula eddalu.